Katikkiro Charles Mayiga ayagala bannamateeka babeere basaale mu kuyamba abantu mu by’amateeka nga tebatunuulidde kukola nsimbi kyokka nga bwebiboogerwako.
Katikkiro Mayiga abadde asisinkanye bannamateeka aba Uganda Christian Lawyers Fraternity mu Bulange e Mmengo, nga bakulembeddwamu president wabwe Ann Muhayirwe Twinomugisha omumyuka wa kaliisoliiso wa government.
Katikkiro abawadde amagezi okunyweza enkolagana yabwe n’abantu nga babasomesa byonna ebikwata ku mateeka n’eddembe lyabwe.
“Abantu bamanyi nti buli tteeka liri mu ssemateeka, ekyo kyemusaana okuyigiriza abantu nti amateeka gonna tegali mu ssemateeka, naye nga bateekeddwa okumanya nti buli kintu kiriko etteeka erikifuga”
Bannamateeka b’Obwakabaka bwa Buganda bakulembeddwa Owek. Christopher Bwanika minister wa Gavumenti ez’ebitundu era Ssaabawolereza wa Buganda, neyeeyama okukuuma enkolagana eno ne bannamateeka bano mu kaweefube w’okuyamba abantu ba Kabaka mu nsonga z’amateeka.
Bannamateeka bano basabye Katikkiro akulemberemu enteekateeka y’okuvvuunula n’okutaputa olulimi lw’amateeka, kiyambe abantu ba Ssaabasajja okugategeera mu lulimi lwabwe oluzaaliranwa.
Ekibiina ki Uganda Christian Lawyers Fraternity kyatandikibwawo mu 1985, n’ekigendererwa eky’okwekuumira awamu nga bannamateeka abakkiririza mu Bukristaayo, mwebaayagala okuyita okutuusa obuweereza bwabwe ku bantu.
Ekibiina kirina ba mmemba abasoba mu 400 okwetoloola Uganda yonna.
Bisakiddwa: Naluyange Kellen