Obwakabaka bwa Buganda n’e ekitongole kya America ekya USAID batadde omukono kundagano ey’okukolera awamu okutumbula okusoma bwino nekigendererwa eky’okusitula ebyenjigiriza n’Obuwangwa mu Buganda .
Endagano eno yakumala emyaka 5 era nga yakutaambula mu masaza ga Buganda gonna okulonda abayizi n’abasomesa bonna okulaba nti basobola okusoma bwino nebateegera kyateegeza mu lulimi oluganda n’oluzungu.
Endagaano ya Buganda eteereddwako omukono wakati wa Minister avunanyizibwa ku byenjigiriza mu Buganda Owek Prosperous Nankindu Kavuma ne Eileen Mokaya Chief of Party okuva mu USAID –ICYD Activity nga babadde ku mbuga enkulu ey’Obwakabaka bwa Buganda mu Bulange Mengo.
Owek Dr Prosperous Nandindu agamba nti endagano eno ekoleddwa olwaleero yakuyamba nyo okumalawo omuwendo gwabayizi abagwa ebigezo mu Buganda olwensonga yobutamanya kusoma n’okumutegeera obulungi. .
Eileen Mokaya Chief of Party okuva USAID –ICYD agamba nti bakizudde nti Uganda ekyalina obuzibu bwa bantu okusoma nebateegera byebasoma ,era nga mu ndagAano eno ekoleddwa ne Buganda bagenda kulabanga bateeka ebikoozesebwa mukusoma wino mumasomero gwonna aga Buganda .
Lawrence Muwonge ssentebe wA Buganda Examination Council nga bebagenda okubunyiza enteekateeka yokubunyisa okusoma Bwino mu Masaza ga Buganda gonna, agambye nti enteekateeka eno yakuyamba abayizi bonna abomubibuga ne mu byalo.
Bisakiddwa: Nakato Janefer