Ssabasajja Kabaka asiimye naagabula abakozi be ku Radio ya CBS ekijjulo ekyenjawulo, oluvanyuma lw’okukwata ekifo eky’okubiri mu nkola y’emirimu mu bitongole bye byonna mu nsengeka y’omwaka 2022.
Ettendekero lya Buganda Royal Institute of business and technical education lyeryakwata ekisooka.
Ekijjulo kino kiyindidde ku kitebe kya Cbs ekikulu Masengere.
Abakozi abaasinga mu 2022 mu bitongole bya Cbs basiimiddwa n’ebirabo era Mawanda Denis yeyasinze mu digital department, Kato Denis yasinze mu kitongole ky’amawulire awereddwa kavu wa ssente, Nassonko Persey yeyasinze ba kitunzi, yasinze mu kitongole kya Digital, Titi Tendo Table, yasinze mu bakozi abakola programme kumpewo, ssonga Evelyn Ntono, okuva mu kitongole kya Administration yasinze abakozi bonna mu CBS awereddwa sente enkalu n’ekyapa kyettaka.
Ku kijjulo kino kubaddeko nokusiima banna byamizanyo ba tiimu ya Cbs ey’omupiira ogw’ebigere olwokuwangula empaka z’ebitongole bya Buganda mu mupiira ogwebigere, ate era n’okukwata eky’okubiri mu mpaka z’ebitongole ne kampuni ezenjawulo mu ggwanga ezimanyiddwa nga Cooperate league.
Ssenkulu wa Radio ya Ssabasajja Kabaka Cbs Fm, Omukungu Micheal Kawooya Mwebe, akulembeddemu emikolo jino, alagidde abakozi ba Radio eno, ne mu bitongole by’obwabaka, okufaayo ennyo ku nsonga z’okuzza obwakabaka ku ntikko nga bayita mu kukola n’amaanyi.
Akulira abakozi ku Cbs, omukungu Robert Kasozi, asabye ebitongole okuwayo akadde okukola ebibasabibwa n’okukola ennyo omwaka guno okuwangula engule yomwaka mu bitongole, n’abakozi okufaayo ennyo ku byenfuna byabwe nebirala.#