Abasajja n’abakazi ba Kabaka abeetaba mu Program ya Entanda ya Buganda 2022 ku Radio CBS abaatuuka ku lumeggana oluddirira olw’akamalirizo n’abaatuuka mu Lubiri ku lumeggana olw’akamalirizo, bakwasiddwa ebirabo byabwe byebaawangula.
Baweereddwa piki piki, fridge, emifaliso ensimbi enkalu n’ebirala.
Omukolo guno gubadde ku mbuga enkulu ey’Obwakabaka mu Bulange e Mengo.
Ssenkulu wa Radio ya Kabaka CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe agambye nti abazira bano kati babaka ba Radio ya Buganda mu bitundu gyebawangaalira, naddala ku mulamwa gw’okukuuma obutonde bw’ensi.
Omukungu Kawooya asabye bonna abaneetaba mu Ntanda ya Buganda omwaka guno okweteekateeka obulungi, nti kubanga yakutandikira ku mutendera gw’amasaza, bajje nga basunsulwa okutuusa lwebanaafunako abanaatuuka mu Studio za CBS.
Omuzira mu Bazira wa 2022 munna Buddu Buwemba Julius, Annita Namusoke eyawangula entanda y’abato Diaspora ne Steven Maseruka baweereddwa ebyapa by’ettaka erisangibwa e Kikandwa mu ssaza Busiro.
Ku baweereddwa ebirabo kubaddeko; Omuzira mu Bazira Buwemba Julius, Nnakaana Jude, Muwulya Gerald, Luyinda Deziderio, Tebuuseeke Gerald, Mugambe Kaamulali, Kyeyune Richard, Bugembe Nasul, Kamoga Kasajja Kaaliwano, Nakanwagi Iklima, Ssennono John Baptist, Anita Namusoke ne Steven Maseruka eyawangula Entanda Diaspora.
Ssentebe w’Abazira mu Bazira, Ssaalongo Ddamba Kaye yeebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okubatandikirawo enteekateeka eno ebayambye okwekulaakulanya, n’okuwa abalala emirimu naddala mu masomero gebatandikawo ku ttaka eriweebwa Omuzira.
Ssaalongo Kaye asabye banne bulijjo okukuuma obulungi ekitiibwa Ssaabasajja kyeyabawa.
Ssenkulu wa kampuni ekulaakulanya ettaka eya Home Connect Properties Uganda Ltd, abavujjirizi abakulu aba Program Entanda ya Buganda, Mayanja Charles Lwanga yeeyamye okukuuma obwasseruganda ne CBS, okukulaalunaya abantu ba Kabaka nga bawaayo ebyapa by’ettaka eri Abazira.
Program Entanda ya Buganda yatandikibwa mu 2003 era bangi baganyuddwamu olw’ebirabo enkumu byebafunyeemu omuli amasomero, emmotoka pikipiki n’ebirabo ebirala bingi, ebibayambye okwekulaakulanya n’okukulaakulanya abalala.
Bisakiddwa: Naluyange Kellen
Ebifaananyi: MK Musa