President wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine akiise embuga, ng'awerekeddwako bannakibiina abalala. Asisinkanye Katikkiro Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mengo, mu nsisinkano etakkiriziddwamu b'amawulire. Kyagulanyi awerekeddwako akulira oludda...
Joshua Musaasizi Nsubuga asoma amawulire ku CBS FM ne BBS telefayina eyaffe agattiddwa mu bufumbo obutukuvu ne mwana munne Eliva Kiwumulo Oligye. Bagattiddwa mu Kanisa ya Seventh day Adventist church...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naagabula abantube ekijjulo ekyenjawulo mu Lubiri e Mengo, ku mukolo Omulangira David Kintu Wassajja n’Omuzaana Marion Nankya kwebajagulizza okuweza emyaka 10 mu bufumbo...
Nnaabagereka Sylvia Naginda asabye Abaganda abali wa bweru wa Buganda okulabira ku bayimbi ba Ganda Boys, okubunyisa ekitiibwa kya Buganda nga bayita mu nkola ey’Obuntubulamu n’okutumbula ennono n’obuwangwa. Nnaabagereka akyazizza...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde ekibiina ekiri mu Buyinza ekya NRM amagezi ,okukolagana n’obwakabaka okukubaganya ebirowoozo ku bukulembeze obuyinza okukyusa ensi eno etuuke ku nkulaakulana y’amawanga amalala. Katikkiro...
Ekisaalaate kya Nnabagereka 2023 kikomekkerezeddwa ku ssomero lya Muzza High School e Kabembe Mukono mu Kyaggwe. Kimaze ennaku 16 nga kibangula abaana b’eggwanga ku mpisa , Ennono , Obuwangwa n’embeera...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye emirimu amatendo egikoleddwa Douglas Nelson Ssenyonjo eyavudde mu bulamu bwensi eno, ng'abadde muweereza mu Kitongole ekye Nkuluze. Omutanda obubaka buno abutisse Nalinnya Agness...
Abayimbi ba GANDA BOYS okuli Denis Mugagga ne Daniel Ssewagudde basomoozezza abazadde okutwala obuvunaanyizibwa bw’okusomesa abaana ennono n’obuwangwa byabwe okuva nga bakyali bato bakule nga babyenyumirizaamu. Abayimbi bano babadde mu...