Essaza Busiro ekubye Buddu goolo 2-1 nerisitukira mu kikopo ky’omupiira eky’amasaza 2022.
Ekikopo kibakwasiddwa Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga.
Busiro ekwasiddwa ceeke ya bukadde bwa shs 12
Ssaabasumba wa Kampala Paul Ssemogerere n’omulangira David Wasajja nga banyumirwa endiba wakati wa Busiro ne Buddu
Buddu ekwasiddwa emidaali nebirabo omubadde ne cheque ya Bukadde 9, essaza lya Ssingo erikutte eky’okusatu lifunye cheque ya bukadde 7, Buvuma lye ssaza eryasinga empisa, Armery Mukasa yasinze okuteeba goolo ennyingi ateebye 8.
Katikkiro yebazizza omutindo ogwóleseddwa mu kusamba omupiira, era naakubirizza abavubuka abalina ebitone obutabituulako.
Katikkiro yebazizza omutindo ogwóleseddwa mu kusamba omupiira, era naakubirizza abavubuka abalina ebitone obutabituulako.
Abawagizi b’amasaza okuva mu masaza ag’enjawulo babaddeyo mu bungi
Katikkiro era yebazizza abawagizi,abateesiteesi nabavujirizi b’empaka ezómwaka 2022, okuli airtel Uganda, Centenary bank, Cbs fm, Bbs Telefayina, ne UNAIDS.
Minisita ow’abavubuka emizannyo nókwewumuzaamu owek. Henry Moses Ssekabembe Kiberu, yebazizza abazannyi olw’omutindo gweboolesezza nasuubiza nti omutindo gwa kwongera okusingawo.
Omwami wa Kabaka atwaala essaza Busiro Ssebwaana Charles Kiberu yebazizza omutonzi olwokubasobozesa okukola ekyafaayo kye ssaza, nga gwemulundi ogusoose Busiro okutwala ekikopo ky’amasaza.
Omutendesi we Ssaza Buddu , Ibrahim Kirya ne Pokino Jude Muleke omwami we ssaza basuubizza okwetereeza mu nteekateeka eziddako eza 2023 baddemu okuwangula ekikopo kyebaakoma okutwala mu 2021.
Bisakiddwa : Kibuuka Fred
Ebifaananyi: MK Musa