Obwakabaka bwa Buganda buliko ekiwandiiko kyebwabaze omulambikiddwa ebirowoozo ebyaweereddwa akakiiko k’eggwanga ak’ebyenjigiriza, mu nteekateeka yókusitula omutindo gw’ebyenjigiriza mu ggwanga.
Ebimu ku biteeso ebissiddwayo akakiiko k’Obwakabaka akebyenjigiriza nga kakulembeddwamu Owek Cotilda Kikomeko Nakate, mubaddemu abavunaanyizibwa ku byenjigiriza mu ggwanga okulondoola amasomero ga Nursery, obutakozesa baana ba Nursery bibuuzo ebirimu okuwandiika, okubayigiriza ennimi enzaaliranwa n’ebirala.

Ku mutendera ogwa secondary Obwakabaka busabye government ekendeeze emisolo ku masomero g’Obwanannyini, amasomo g’ebyemikono gabeere gankizo kiyambe abayizi okubaako emirimu gyebetandikirawo okufuna ensimbi, okufuula essomo lyebyobulimi ery’obuwaze n’ensonga endala.
Ku mutendera gw’amatendekero aga waggulu, Obwakabaka busabye government eteeke abasomesa mu matendekero gonna naago ag’Obwananyini, efube erondoole omutindo gwebisomesebwa, government eteekewo enkola ey’Obutasasuza nsimbi abayizi bagezesebwa ku mirimu , n’Obweerufu ku ngabanya ya ssikaala eri abayizi ababa bagenda okuyambibwako government, Amatendekero gonna ébintu byegasomesa bibeere nga bifaanagana.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti abaana basaanye basomesebwe ebyafaayo ebibakwatako mu bitundu mwebawangaalira , n’Okwongera amaanyi mu masomo g’ebyemikono.
Nuwa Amanya Mushega nga ye ssentebe w’akakiiko k’eggwanga akeekeneenya eby’enjigiriza, asabye bonna abaagala enkulaakulana y’ebyenjigiriza okuwaayo ebirowoozo , kyokka naalaga okutya olw’ebyenjigiriza ebyalimu obuyiiya emyaka egiyise okuba nti tebikyaliwo.
Akakiiko kakyagenda mu maaso nókukungaanya ebirowoozo okuva mu bitongole nábantu kinnoomu nékigendererwa ekyókuzza endasi mu byénjigiriza bya Uganda, omuli nébitongole ebyasabye government okuwera abayizi okukeezebwa ennyo ku masomero.
Bisakiddwa: Kato Denis