Obwakakaba bwa Buganda bwanjudde enteekateeka y’okujaguza olunaku lw’abakyala mu Buganda.
Lwakukuzibwa mu ssaza lya Kabaka erye Ssese nga 1 Kafuumuulampawu (April) 2023 mu kibuga Kalangala.
Minisita wa Buganda Ow’enkulaakulana y’abantu (Ekikula ky’abantu) Owek Dr. Prosperous Nankindu Kavuma bwabadde ayanjula enteekateeka zino mu Bulange e Mengo, agambye nti Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiimye olunaku luno lutambulire ku mulamwa ogugamba nti “Tweyambise Obuyiiya ne Technologia mu kulwanyisa obulwadde bwa mukenenya n’obutabanguko mu maka”.
Owek. Dr. Nankindu agambye nti Nnaabagereka Sylvia Nnagginda y’agenda okubeera omugenyi omukulu ku mukolo ogwo.
Ssentebe wa bboodi y’ekikula ky’abantu mu Bwakabaka Omukungu, Fatumah Nakkazi agambye nti baakutegeka emisomo n’okutalaaga ebizinga ng’olunaku lwennyini terunnatuuka, okubangula abakyala ku ngeri gyebayinza okulwanyisaamu obutabanguko mu maka gabwe.
Omukungu Nakkazi agambye nti ensangi zino abaami ebitundu 44 ku buli kikumi batulugunyizibwa bakyala babwe bennyini mu maka, ekireetawoo obutabanguko mu maka n’okwongera okusaasaanya obulwadde bwa mukenenya.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K