Ekitongole kigenda kukulemberwa Omuk. Dr Nassanga Jane Ruth, wakumyukibwa Dr.Abasi Mukyondwa Kabogo.
Ba memba abalala abakubye ebirayiro by’okuweereza Obwakabaka okuyita mu kitongole kino, kuliko Ddegeya Ssekyeru, Dr. Nicholas Mugagga, Betty Naluggya, Edward Kalyesuubula, Kalungi James Kamwanje, Dr. Muwanga Moses, Venantious Bbaale Kirwana Bwanika ne Esther Namatovu.
Ssentebe w’ekitongole ki Buganda kingdom medical bureau Omuk Dr Nassanga Jane Ruth ,asuubizza enkolagana ennungi n’ebitongole by’Obwakabaka ebirina akakwaate ku byobulamu, era neyeebaza Beene olwokusiima n’abalengera bamuweereze butereevu.
Bwabadde atongoza ekitongole kino minister w’ebyobulamu mu Bwakabaka Owek Dr. Prosperus Nankindu Kavuma asabye ekitongole kino kikwasizeeko Obwakabaka okusitula omutindo gw’amalwaliro g’Obwakabaka agaliwo naago agenda okuzimbibwa, n’eby’obulamu byonna okutwalira awamu.
Bisakiddwa: Kato Denis