Ekitongole kya Red Cross munsi yonna kisiimye era nekiwa engule eri Obwakabaka bwa Buganda okuyita mu kitongole ekya Kabaka Foundation eyitibwa Henry Dunant Award, olwa kawefube gwekikoze ow’okukunga abantu okwenyigira mu mukugaba omusaayi.
Engule eya Henry Dunant yabbulwa mu mutandisi w’ekitongole Red Cross Society munsi yonna Henry Dunant,eranga engule eno eweebwa abantu wamu n’ebitongole abirina eby’enkizo byebakoze mu ggwanga okusinga kubalala .
Ssabawandiisi we kitongole ekya Uganda Red Cross Society Robert Kwesiga, bwabadde ayogerera ku mukolo ogwokukwasa Obwakabaka engule ogubadde ku Hotel Golf Course mu Kampala, ategezeza nti Obwakabaka bwa Buganda kyakulabirako kinene eri amawanga gonna.
Yebazizza Buganda olw’okwenyigira mu byobulamu naddala munteekateeka y’okugaba omusaayi.
Kwesiga yeyanzizanyo Ssabasajja Kabaka olw’okusiima enteekateeka eno ey’okukunga abantu okugaba omusaayi netandikawo mu masazage.
Ssenkulu we kitongole ekya Kabaka Foundation Omukungu Edward Kaggwa Ndagala nga yakwasiddwa engule ategezeza nti Obwakabaka ne ekitongole kyakulembera bakugenda mu maaso n’okuteekesa ekiragiro kya Ssabasajja Kabaka mu nkola, eky’okukunga abantu ba Buganda ne Buganda okwenyigira mu by’obulamu.
Mu balala abaweereddwa engule mwemuli ABSA Bank olw’okudduukirira ennyo abantu abakoseddwa ebibamba, Bank of Uganda eweereddwa olw’okutaasa abantu b’e Karamoja enjala , Centenary Bank efunye engule y’okulwanirira omwana omuwala okusigala mu ssomero.
Omuvubuka Kaweesa Ronald amanyiddwa nga 2Pack asiimiddwa okuba muvubuka asinze okugaba omusaayi emirundi 55.
Bisakiddwa: Nakato Janefer