Minister wa bavubuka ebyemizannyo n’okwewumuzaamu mu bwakabaka Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu, ayanjulidde Obuganda engabo 2 ezigenda okuwebwa ebika ebinaawangula emipiira gy’ebika egyakamalirizo egy’omwaka 2022.
Fayinolo zigenda kubeerawo ku lw’omukaaga luno nga 11 March, 2023.m mu kisaawe e Wankulukuku.
Omukolo gw’okwanjula engabo zino gubadde mu Bulange e Mengo, okuli engabo y’omupiira ogw’ebigere n’engabo y’okubaka.
Minister Ssekabembe Kiberu ne Sarah Nkonge ssentebe w’omupiira gw’okubaka
Mu mupiira ogw’okubaka Engeye ejja kuttunka ne Mamba Gabunga, ate omupiira ogw’okulwanira ekifo eky’okusatu Olugave lwakuttunka ne Nnyonyi Ennyange.
Okuyingira mu kisaawe e Wankulukuku kwa shs omutwalo 10,000/= ne 20, 000/= abakungu, ate abayizi bakusasula shs 5000.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe