Essaza lya Busiro liwangudde ekikopo ky’omupiira gw’amasaza ga Buganda ey’omwaka 2022.
Busiro okutwala ekikopo ekubye Buddu ku goolo 2 – 1, mu mupiira ogw’akamalirizo oguyindidde mu kisaawe e Wankulukuku mu Kampala.
Omupiira guno ogubadde ogw’akaasa mmeeme gutandise ku ssaawa mwenda ez’Olweggulo.
Goolo ya Buddu emu eteebeddwa muyizzi tasubwa Kalanzi Denis, ate Isaac Oyiroth ne Kafumbe Masuudi nebateebera Busiro goolo ez’obuwanguzi.#