Ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF, kikkiriza ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, okukozesa akabonero akenjawulo ku mujoozi gwa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes, okujaguza emyaka 100 egya FUFA.
FUFA yawandiikira CAF ng’egisaba okugiwa olukusa okuteeka akabonero kano ku mijoozi gya Uganda Cranes, mu kiseera nga FUFA ejaguza emyaka 100, ng’ekulembera omupiira gwa Uganda.
Omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussein, agambye nti akabonero kano kagenda kuteekebwa mu kifuba ky’emijoozi gyonna egyabazannyi, okutandika n’omupiira Uganda Cranes gw’egenda okuzannya ne South Sudan enkya nga 11 October,2024 e Namboole mu mpaka za Africa Cup of Nations qualifiers.
Ahmed Hussein agambye nti akabonero kano kagenda kukozesebwa ku mipiira gyonna Uganda Cranes gy’esigazza mu mpaka za Africa Cup of Nations qualifiers zokka.
Akabonero ak’okujaguza emyaka 100 egya FUFA, kwayanjulwa president wakyo, Ssalongo Eng Moses Magogo mu ttabamiruka w’ekibiina eyatuula ku Maya Natural Resort nga 04 October,2024.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe