Olukiiko oluddukanya ttiimu y’essaza Busiro lufuumudde abadde omutendesi wa ttiimu eno Emuron Recoba, oluvanyuma lwa ttiimu okutandika n’omutindo ogw’ekiboggwe mu mpaka za Masaza ez’omwaka guno 2024.
Saad Mwanje Mutesasira ssentebe wa ttiimu ya Busiro agambye nti balonze Paul Kiwanuka okumuddira mu bigere.
Busiro mu mpaka za ez’omwaka guno yakazannya emipiira 3, tenawangulayo mupiira gwonna.
Busiro yasooka kukubwa Busujju goolo 1-0, n’eddako okugwa amaliri ne Mawokota 1-1 ate nga yasembyeyo kukubwa Kabula goolo 1-0.
Busiro egenda kuzaako okukyaza Buvuma mu kisaawe e Ssentema nga 04 August,2024.
Omupiira guno gwabadde gwakubeerawo ku Sunday nga 21 July, kyokka gwayongezeddwayo olwa bazannyi ba Busiro abaafuna obuvune mu kabenje bwebaali bava okuzannya ne Kabula.
Omutendesi wa Busiro omuggya Paul Kiwanuka season ewedde y’abadde mutendesi ku ttiimu y’essaza Kyadondo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe