Ebya ttiimu y’essaza Busiro byongedde okuba ebibi mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere eza 2024, Buvuma bwegirumbye omwayo n’egikubirayo goolo 2-0.
Omupiira guno guzannyiddwa mu kisaawe e Ssentema.
Ggoolo eziwadde Buvuma obuwanguzi ziteebeddwa Ntege Gordon ne Kasolo Dezideriyo.
Busiro esigadde ku bubonero 2 ng’esembye mu kibinja Masengere, ate nga Buvuma egenze ku bubonero 7 mu kifo eky’okuna.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, asabye Bannabusiro okusigala obumu ate n’okulwana okwongera okuwagira ttiimu yabwe munsonga z’obuvugirizi kuba omukisa gukyali munene ddala okuyitawo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe