Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja alondeddwa okubeera Ssentebbe w’olukiko olukulembeze oluddukanya Sacco ya Busiro CBS PEWOSA, azze mu bigere bya Owek Joseph Magala Nyago.
Omumbejja Nakalema era y’akulira ekitongole kya CBS ekya digital resources.
Busiro CBS PEWOSA Sacco etuuzizza Ttabamiruka ow’omulundi ogwo 05 ow’omwaka 2024 abadde e Kyengera ku Rose Gardens, era mwebakyusirizza obukulembeze.
Olukiiko olulondeddwa Lukulembera Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja,Amyukubwa Ssemakula Emmanuel,Omuwanika Robbinah Muwonge, Omuwandiisi Lukwago,nga bamemba ku Lukiiko kuliko Omukungu Robert Kasozi ,Susan Muwanga ,Nakyesa Eden n’abalala.
Olukiiko oluwedde lubadde lumazeeko emyaka 05.
Bwabadde ayogerako eri banna Busiro CBS PEWOSA Sacco, Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja yeyanzizannyo Ssaabasajja Kabaka okusiima naayongera amaanyi mu bibiina by’obwegassi ebituusizza enkulakulana mu bantu.
Nakalema akakasizza ba Memba nti bakukola obutaweera okukuuma Sacco ku musingi ogw’obwesimbu n’enkulaakulana, era nasaba bamemba okwongera okutereka.
Abadde omugenyi Omukulu ku mukolo guno Owek Haji Amis Kakoomo, Minister wel’e byobulimi, Obwegass,i Obusuubuzi n’obuvubi mu Buganda asabye ba Memba okwongera okuteereka Ssente n,okugula emigab
Owek Joseph Mangala Nyago abadde Ssentebe w’olukiko olukulu oluddukanya Busiro Cbs PEWOSA Sacco awumudde, naasaba abantu obuteeremeeza nga mu bifo byabuweereza, ekiseera bwekituuka bawummule.
Ssenkulu wa Sacco eno Nanyanzi Maureen ategezezza ba Memba nti Sacco ayongedde okufuna ba Mmemba abapya, n’emigabo gyeyongedde, naategeeza nti mu mwaka 2025 balina enteekateeka ezenjawulo ezigendereddwamu okukulakulanya ba Mmemba.
Mu Ttabamiruka ono, Akazanyo ka Busiro cbs PEWOSA Sacco aka Tereka, Ssiga nga bwowaangula akamaze ebbanga nga ba memba mu Sacco bawangula ebirabo Kakomekerezeddwa.
Ba memba bawangudde Ebyapa by’ettaka ,Pikipiki ,Fridge,Emifaliso ,Assimu,ebyamasanyanlaze n’ebirala bingi.
Bisakiddwa: Nakato Janefer