Bus ya kkampuni ya Link number UAY 485E egudde ku kabenje e Mukunyu Kyenjojo ku luguudo lwa Kampala-Fortportal, ddereeva afiiriddewo.
Link etomedde ekimotoka ekitisse emiti NO.UAV 326W ekyakwamidde ku kkubo.
Omwogezi wa police mu Rwenzori West Twesigye Vicent agambye nti ddereeva afudde ye Kawawu Dauda, saako n’abalala abalumiziddwa baddusiddwa mu ddwaliro e Kyenjojo.
Akabenje kano kaguddewo nga tewannayita wadde olunaku, parliament eragidde police ne UNRA okukwata emmotoka zonna ezisimbibwa ku kkubo omuli nezikwamye, bannyinizo okuziggyayo basooka kusasula ngassi #