Bus ya Kampuni ya Link No. UBJ 772 Z egudde ku kabenje, omugoba waayo bwábadde agezaako okuwugula pikipiki.
Bus eno ne pikipiki NO. UFF 965 X zibadde ziva ku ludda lwé Mubende nga zoolekera Mityana.
Aberabiddeko bagamba nti pikipiki ebadde mu maaso ga bus kwekusala omulundi gumu awete, so nga ne bus ebadde emutuuseeko.
Omugoba wa bus Sunday Francis mu kugezaako okuwugula bus aleme kutomera mugoba wa pikipiki, bus emulemeredde neyerindiggula ku ttaka.
Abantu 3 bebalumiziddwa nebatwalibwa mu ddwaliro okufuna obujanjabi.
Abalumiziddwa kuliko Kyeka Kevin, Nyakato Passy ne Namakuza Daphin.
Ayogerera police mu bitundu bye Mityana Racheal Kawala agambye nti bus ne pikipiki byombi bigiddwawo nebitwalibwa ku police mu Kiganda, nga bwebeyongera okwetegereza ekivuddeko akabenje.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi