Ssaabasajja Kabaka empologoma ya Buganda Sseggwanga Ronald Muwenda Mutebi ll, asiimye okulabikako eri obuganda olwaleero, ngóbuganda bujaguza olunaku lwa government ezébitundu ne Bulungibwansi nga luno lwenunaku lwamefuga ga Buganda .
Ssaabasajja Kabaka emplogoma ya Buganda yasiima obuganda bukuze olunaku luno nga Bukola bulungibwansi, era Obuganda bumaze Sabiiti namba nga bukuza olunaku luno, nga buyita mu kusimba emiti mu Masaza okuuma obutonde bwénsi, okuyonja embiri nébifo mwebabeera blwanyise eddwadde eziva ku bujjama.
Emikolo gino gibumbujjira mu Lubiri e Mengo mu nkola eyakinasayansi, kumulamwa ogugamba nti abaami nóbutonde bwénsi.
Bweyali ku mikolo gya Bulungibwansi egyo mwaka oguwedde ku gombolola ye Masuliita mu Busiro, Beene yalabula abantu abatandise okukozesa olukujjukujju okunyaga ettaka lya Kabaka n’elyabantube, nalagira abaamibe nga bakolaganira wamu ne kitongole kya Buganda Land board okuvaayo bayambe ku nsonga eno.
Omuteregga yategeeza nti abakujjukujju bano bafuna ne byaapa ebijingirire nebagoba abantu ku ttaka lyaabwe.
Ku mukolo ogwa leero Beene yasiimye okukwaas amasaza agasukulumwe ku ganaago mu Buwereza obulungi eri abantu bebawereza, era omwaka guno Mawokota yeyakutte ekisooka, nedirirwa Kyadondo, Bulemeezi nekwata kyakusatu, Kyaggwe yakuna, Busiro yakutaano ne Buddu yamukaaga.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agamba nti ekimu ku kinataasa Buganda ne Uganda okwekolera ku nsonga ezibaluma ye nkola eya Bulungibwansi.
Minister avunaanyizibwa ku Bulungibwansi, ettaka nóbulimi mu Bwakabaka bwa Buganda Oweek Mariam Mayanja agambye nti nga Buganda eyita mu nkola ya Bulungi Bwansi bingi ebitukiddwako.
CUE IN Mayanja Bulungibwansi
Mukiseera kino abagenyi abayite batandise okutuuka mu Lubiri e Mengo, nga olwekirwadde ki COVID 19, gyakwetabwako abantu basaamusaamu.
Emikolo ggyona gyakuwerezebwa buterevu ku Radio eno 88.8 neku Terefayina, okusobozesa abantu ba Beene bonna okugoberera buterevu ebigenda maaso.