Ttiimu y’essaza Butambala egudde maliri ne ttiimu y’essaza Bugerere mu mpaka za masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere, mu mupiira ogubaddeko n’okuluma obugigi oguzannyiddwa mu kisaawe kya Kibibi SS.
Butambala yesoose okuteeba ng’eyita mu Yusuf Kato kyokka Bugerere evuddeko mabega n’eteeba ng’eyita mu Yawe Twaha.
Butambala egenze ku bubonero 4 okuva mu mipiira 4 ate Bugerere egenze ku bubonero 7 era okuva mu mipiira 4.
Omupiira omulala oguzannyidwa olwaleero, Ssese egudde maliri ne Busujju goolo 1-1 mu kisaawe e Lutoboka Kalangala.