Obwakabaka bwa Buganda bwegasse ku government eyawakati okuwandiisa abalimi b’emmwanyi okwetoloola eggwanga lyonna, nekigendererwa eky’okutaasa ebirime ebitundibwa ku katale k’Amawanga g’Omukago gwa Bulaaya obutagobwa.
Omukago gwa Bulaaya gyebuvuddeko gwaalabula abalimi b’Emmwaanyi, Cocoa, Enva endiirwa n’ebirime ebirala ebitwaalibwa ku katale ka Bulaaya nga biva mu mawanga ga Africa, obutageza kulimira ku ttaka okusaayiddwa ebibira.
Parliament y’Omukago gw’Amawanga ga Bulaaya yakkaatiriza, nti Emmwanyi n’ebirime byonna ebinaatwalibwa e Bulaaya nebizuulwa nga byasiimbibwa ku ttaka okwali kutudde ebibira okuva mu mwaka 2020 tebigenda kugulwa, kubanga bibeera byalimibwa mu mbeera ettattana Obutondebwensi.
Parliament y’Omukago gwa Bulaaya yateekawo Nsalessale, nga etteeka ly’Okwekeneenya Emwaanyi eziva mu Africa omuli ne Uganda lyakutandika okukola nga 30.12.2024, era nga emmwaanyi ezinaaba zitamanyiddwako wezirimwa tezigenda kugulibwa.
Bwabadde mu nsisinkano n’abavunaanyizibwa ku Mmwanyi abakungaanidde mu Bulange e Mengo, Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti okuwandiisa abalimi b’Emmwanyi kyakwongera Uganda emikisa gy’Okwegiriisiza mu Katale ka Bulaaya, n’Okuyisa ku bitundu 60% Uganda byetunda mu mawanga ga Bulaaya mu kiseera kino.
Ensisinkano eno yetabiddwamu, omubadde abakulira ekitongole ky’Omutindo gw’Emwanyi ki Uganda Coffee Development Authority, Abasuubuzi, Abalimi n’Abagatta Omutindo ku mwanyi.
Katikkiro era asabye abalimi obutaterebuka olwa kaweefube w’Okuwandiisa abalimi, kuba tagendereddwamu kubagyako Musolo, mungeri yeemu neyeebaza government okuleka ekitongole ky’emmwanyi nga kyetengeredde, neetakissa wansi wa ministry y’Ebyobulimi , Obulunzi n’obuvubi.
Omumyuuka wa Katikkiro owookubiri era nga ye muwanika w’Obwakabaka Owek Robert Waggwa Nsibirwa, agambye nti Ssaabasajja Kabaka akkiririza mu kufulumya ebyamaguzi ku katale k’Ensi yonna ebituukanye n’Omutindo, naasaba entekateeka eno ejjumbirwe.
Minister w’Ebyobulimi Obulunzi Obutale n’Obwegassi Haji Hamis Kakomo, agambye nti Obwakabaka bwetegefu okukolagana na buli muntu alwanirira abalimi b’Emwaanyi okuva mu Bwavu, kyokka era naabasaba n’okulima emmere emala kube kitundu ku nkulaakulana y’Abantu mu Uganda.
Omuk Benon Ssekamatte nga ye ssentebe wa boodi y’Ekitongole ky’Ebyobulimi mu Bwakabaka ki BUCADEF, ategeezezza nti bukyanga nteekateeka ya Mmwanyi Terimba yatandikawo emyaka 7 emabega ,embeera z’Abantu zikyuuse nnyo naddala mu by’enfuna.
Omuk Ssekamatte ategeezezza nti nga bakolaganira wamu n’Ekitongole ky’Omutindo gw’emwaanyi mu ggwanga ki Uganda coffee Development Authority, waliwo ebituukiddwako bingi ebigenda okusitula Buganda ne Uganda eyawamu.
Akulira ebyenkulaakulana mu Uganda Coffee Development Authority Dr Gerald Kyalo, asabye abalimi mu Buganda ne Uganda yonna okwettanira entekateeka eno ey’okwewandiisa, kuba waliwo amawanga mangi mu Africa agaliko wegagituusizza.
Fred Luzinda Mukasa nga mukungu mu Kampuni y’Obwakabaka eya Mwaanyi Terimba Limited, agambye nti Obulimi bw’Emmwanyi mu mwezi July 2024 bwavuddemu Obukadde bwa doola za America 10, ekitabangawo mu byafaayo by’Emmwaanyi mu Uganda.
Abasuubuzi b’Emwaanyi n’Abagattako Omutindo nga bakulembeddwaamu Amos Kasigi, ategeezezza nti enkola eno egenda kuyambako mu kusitula Omutindo gw’Emmwaanyi ezigenda ku butale bwonna, era nga ebbeeyi y’Emwaanyi balina essuubi nti yakwongera okulinnya.
Bisakiddwa: Kato Denis