Ttiimu y’essaza Kyaggwe yesozze omutendera gwa semifinal mu mpaka z’Amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere, bwewanduddemu Ssingo ku mugatte gwa goolo 2-1.
Ttiimu zombiriri zigudde maliri ga goolo 1-1 mu kisaawe e Mityana, kyokka ng’oluzannya olwasooka e Mukono Kyaggwe yaluwangula goolo 1-0.
Mungeri yeemu Kyadondo nayo egenze ku semifinal bwewandudemu Busujju ku mugatte gwa goolo 2-0.
Kyadondo erumbye Busujju omwayo n’egikubirayo goolo 1-0, ate nga Kyadondo era yasooka kuwangula goolo 1-0.
Buweekula nayo yesozze semifinal oluvanyuma lw’okugwa amaliri ne Mawokota goolo 1-1 e Mubende, era bwetyo Buweekula n’eyitawo ku mugatte gwa goolo 2-1. Oluzannya olwasooka e Buwama yaluwangula goolo 1-0.
Buddu nayo yesozze semifinal oluvanyuma lw’okuwandula Kabula ku mugatte gwa goolo 3-1.
Buddu egudde maliri ne Kabula goolo 1-1 e Masaka, nga oluzannya olwasooka e Lyantonde Buddu yakuba Kabula goolo 2-0.
Kati ku mutendera gwa semifinal, Buweekula egenda kuzuzumba ne Kyaggwe ate Kyadondo ettunke ne Buddu.
Bisakidwa: Isah Kimbugwe