Brother Father Annattooli Waswa abadde munnaddiini ate Omusawo ow’ekinnansi ajjanjabisa obutonde.
Father Annattooli Waswa abadde mukugu mu kunoonyereza ku by’obuwangwa n’eddwadde, era abadde munoonyereza ate omuvumbuzi w’eddagala ly’obutonde.
Enkya ya leero nga 3 January 2023, Eklezia Katulika mu Uganda efunye amawulire g’okufa kwa Brother Father Annattooli Waswa owa Bannakalooli Brothers e Kiteredde Rakai District.
Br. Fr.Annattooli yafuna obwa Brother mu 1947, oluvannyuma n’afuna okuyitibwa okukwokuweereza Katonda ku Altaali entukuvu ng’Omusasserdooti era n’afuna Obusasserdooti mu 1977, okuva olwo n’abeera ng’ayitibwa Brother-Father okutuusa lwafudde!
Munna Ssingo ono yazaalibwa mu 1926 era okuyingira obwa Brother yali asoose kutendekebwa era n’akuguka mu busomesa bwomukibiin.
Br.Fr.Annattooli Wasswa yafuna ettutumu nga munna ddiini omukatoliki ali ku ddaali ly’Obusasserdooti eyasooka mu Uganda, okwesowolayo n’abeera omusawo “Omuganda” ng’ajjanjabisa eddagala ly’ekinnansi (Traditional Herbalist).
Brother Annattooli Waswa ajjukirwa nnyo mu kuvumirira abaali batabiikiriza obusawo bw’ekinnansi n’obulogo.
Yakulemberamu kaweefube w’okunoonyereza n’okulwanyisa ebikolwa ebya kalogo kalenzi ebyali bitabiikirizibwa mu kujjanjabisa obutonde n’okusamira.
Omulimu guno yaguwomamu omutwe mu 1981 oluvannyuma lw’okulondebwa abakulu mu Eklezia okukola ku nsonga eyo.
Mu mbeera eno waliwo bangi abaali beerimbise mu bikolwa eby’ekifere naddala mu bulaguzi n’obujjanjabi bw’obutonde, abaabivaamu era nebalangirira mu lujjudde nti baali badyekadyeka bantu.
Brother-Father Annattooli Wasswa waafiiridde nga yazimba eddwaliro ggaggadde e Kiteredde erijjanjabisa obutonde, ate nga litendeka n’abalala mu mulimu gwegumu mpozzi n’okusaabulula obulimba bw’abalaguzi abafere.
Alese n’eddwaliro eddala okumpi n’enkulungo ye Kibuye mu Kampala, webajjanjabira mu kinnansi n’obutonde.
Brother Father Annattooli Waswa afiiridde ku myaka 96 egy’obukulu mu ddwaliro lya Mulago National refferal Hospital.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.