Munnabyamizannyo Arthur Blick Mugerwa atandiseewo ekkolero erisogola wine eriyitibwa Blink Mulberry Factory erisangibwa E Kisiisi MpaTta Mukono mu Kyaggwe, nékigendererwa ekyókwongera okufunira abavubuka emirimu.
Ekkolero lino ligguddwawo omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek Luwagga Muggumbule, atumiddwa Ssaabasajja Kbaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Mu bubaka bwa Ssaabasajja Kabaka, asabye abantu okujjumbira okutandikawo emirimu gy’emikono n’okukwatirako abavubuka nga babawa obukugu mu mirimu ejitali gimu.
Arthur Blick Senior yebaziza Omutanda olwókumukkiriza okukolera ku ttaka lye okuva mu mwaka 1992, okutuusa jjuuzi lweyafuna ekyapa ku ttaka lino mu nkola ya liizi eye myaka 99, wamu n’okumulambulanga n’okumuzaamu essuubi mu byakola.
Agaseko nti yasalawo okukola omwenge ggwa wine okuva mu Nkenene, nti kubanga nyangu okulima wamu n’okukabirira.
Enkenene azikungula emirundu 6 mu mwaka, ekimuyamba okukola liita za wine ezisoba mu 500 olunaku.
Munnamakolero Maggie Kigozi yebazizza Ssaabasajja olwéttaka lyeyabawa lyebasobodde okukozesa okutondawo emirimu eri abatuuze b’ekyalo, era yeebazizza olwénkola ya Mmwanyi Terimba gyagamba nti emuyambye nnyo nabafamire ye.
Ekkolero lino eritudde ku yiika zéttaka 68 lyatandikawo mu 2019 era wine akolebwayo mu nnimu, omuwemba, Sukali ne Nkenene.
Bisakiddwa: Nakato Janefer