Ssaabalabiriizi w’e Kanisa ya Uganda Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu mu butongole yeddiza obukulembeze bw`obulabirizi bw’e Luweero.
Ssaabalabirizi mu lukungaana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku lutikko ya Emmanuel esangibwa e Mvara mu bulabiriizi bwa Madi West Nile, mu kibuga kye Arua, agambye nti wakutwala obuvunanyizibwa buno okutuusa nga Luweero efunye omulabirizi omuggya.
Abadde yasooka okulondebwa ng’Omulabirizi omuggya owa Luweero Godfrey Kasana abadde atuuzibwa nga 16 July ,2023. Wabula oluvanyuma lw’abamu ku bakristaayo okwemulugunya mti tatuukiridde ku bigambibwa nti yazaala abaana ebweru w’obufumbo, olukiiko lw’abalabirizi olwamulonda lwasalawo okumusazaamu.
Lwasaawo omwezi mulamba ogwa July okusunsusula omulabirizi omulala asuubirwa okwanjulwa nga 01 August, olwo atuuzibwe nga 06 August 2023.
Mu ngeri yeemu waliwo n’abakristaayo a awakanya okusazibwamu kwa Kasana, nga bagamba nti tekyakolebwa mu bwenkanya.
Ssaabalabirizi alabudde abakulembeze beby`obufuzi nabakristaayo e Luweero ensonga z’ekanisa obutaziyingizamu byabufuzi.
Omulabirizi Eldard Nsubuga abadde asumba obulabirizi buno awummudde mu butongole emirimu gy’obulabirizi nga 09 June, 2023 ,oluvannyuma lw’okuweza emyaka 60 egy’obukulu egirambikiddwa mu buweereza bw’ekanisa.
Omulabirizi wa Central Buganda Mike Lubowa y’akiikiridde Ssaabalabirizi ku mukolo omulabirizi Eldard Nsubuga kwaweereddeyo omuggo gw’obulabirizi.
Bishop Mike Lubowa asabye abakristaayo okwongera omusabira ekanisa embeera eriwo ereme kusajjuka, wabula okwongera okukuuma endiga za Katonda nga ziri wamu.
Omulabirizi awumudde Eridard Kironde Nsubuga, yebazizza abo bonna abamukwatiddeko mu buweereza bwe, era nasiima bannaLuweero olw`omukwano gwebamulaze nebatuuka n`okumuzimbira ennyumba mwagenda okuwummulira.
Bisakiddwa: Musisi John