Eyaliko omusumba w’eklezia katulika ow’essaza lye Hoima Bishop Albert Edward Baharagate Akiiki avudde mu bulamu bw’ensi.
Okusinziira ku musumba we Hoima aliko Bishop Vincent Kirabo, Bishop Baharagate affiiridde mu ddwaliro e Nsambya, gy’amaze akaseera ng’ajanjabibwa.
Bishop Baharagate abadde amaze emyaka 31 nga yannyuka emirimu gy’obwa bishop.
Yayawulibwa ng’obusasorodooti nga 7th December 1958, ate n’atuuzibwa ku bwa Bishop nga 01 August 1969, yabunnyuka 09 march,1991.
Bishop Baharagate yoomu ku ba bishop 12 abaatuuzibwa mu butume obwo, paapa Paul VI lweyali mu Uganda.
Yaweereza essaza lye Bunyoro okumala emyaka 22, era bweyawummula yasalawo kuwummulira mu kigo kya Our Lady of Fatima Nakulabye mu Kampala gy’amaze emyaka 31.
Bishop Baharagate afiiridde ku myaka egy’obukulu 92.
Yazaalibwa nga 25 February, 1930 mu Bunyoro ku kyalo Nyamigisa mu district ye Bunyoro.#