Olukiiko oluddukanya empaka zébika by’abaganda ezómupiira ogwébigere n’okubaka, lukakasizza ensengeka yémipiira egyébibinja egyómutendera gwa ttiimu 16 ezómupiira ogwébigere.
Ekibinja A:
Olugave, Ensenene, Engo ne Nvuma.
Ekibinja B:
Effumbe, Omusu, Engabi Ensamba ne Ngoonge.
Ekibinja C:
Ekkobe, Ngaali, Embogo ne Omutima Omuyanja.
Ekibinja D:
Engeye, Empindi, Omutima Omusagi n’Ekinyomo.
Emipiira ku mutendera guno gigenda kutandika ku lwókubiri nga 20 June,2023 era gigenda kuzanyibwa ku mutendera ogwókuddingana.
Ebika 44 byebyetaba mu mpaka z’omwaka guno 2023 okuva ku mutendera ogusooka ogwali ogw’okusunsula, nemusigalamu ttiimu 32.
Omutendera gwa ttiimu 32 gwakomekkerezeddwa nga ttiimu 16 zeziyiseewo, era zino zezisengekeddwa mu bibinja ebina.
Ssentebe wémpaka zébika bya Baganda, Katambala Al Hajji Magala Sulaiman, yebaziza ebika byonna ebyetabye mu mpaka zino, era n’asaba ebika 16 ebigenze ku mutendera gw’ebibinja okwongera okulinnyisa omutindo ate nabazukulu okwongera okugenda mu bisaawe okuwagira ebika byabwe.#
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe