Bannantameggwa b’empaka z’ebika bya Baganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka oguwedde 2022, bazukulu ba Luwomwa abeddira Endiga, bawanduse mu mpaka z’omwaka guno 2023, bakubiddwa bazukulu ba Nsamba abeddira Engabi goolo 3-2.
Ensitaano eno abadde mu kisaawe e Wankulukuku era goolo zonna 3 eziwadde Engabi obuwanguzi, ziteebeddwa Sula Matovu Maluda ate nga eze Ndiga zitebeddwa Dan Sserunkuuma ne Mpande Regan.
Bazzukulu ba Kasujja abe Ngeye bawanduddemu Obutiko ku goolo 2-0 ezitebeddwa Edwad Kabona ne Hassan Kabuye, omupiira gubadde mu kisaawe e Wankulukuku.
Mu kisaawe kya Buddo SS, Effumbe likubye Enkima goolo 1-0 eteebeddwa Ssenoga Muhammad Kagawa.
Ekinyomo kikubye Ennyonyi Endiisa goolo 2-0 eziteebeddwa Alvin Birungi ne Enock Kagogwe.
Mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso, Ekkobe likubye Enjovu goolo 4-1.
Engoonge ekubye Embwa goolo 2-0.
Mu kisaawe kya Kawanda SS, Omutima Omuyanja gukubye Amazzi ge Kisasi goolo 6-0, Mayanja Abubaker ateebyeko goolo 4 ne Kakeeto David goolo 2.
Olulyo Olulangira lukubiddwa Envuma goolo 2-1 era goolo ze Nvuma zonna 2 ziteebeddwa Davis Kasirye ate eyabalangira eteebeddwa Frank Kalanda.
Ebika 16 byebiyiseewo okuli Empindi, Omutima Omusagi, Omusu, Olugave, Ngaali, Engo, Ensenene, Mbogo, Engabi Ensamba, Engeye, Effumbe, Ekinyomo, Ekkobe, Engoonge, Omutima Omuyanja ne Nvuma.
Obululu bw’okusengeka ttiimu zino bwebulindiriddwa.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe