Omukulembeze wékisinde ky’e byóbufuzi ekya People’s front for Transition Rtd Dr. Kiiza Besigye awadde government nsalesale wa nga 01 july, 2022 okuba ngériko enkyukakyuka zekoze ebbeeyi yébintu ekendeere.
Agambye nti singa tekikolebwa, aliko entegeka endala gyaluse mwagenda okuyita okukunga abantu mu buli kitundu ky’e ggwanga okutandika okubanja government, ebeeko nekyekola ku bbeeyi yébintu.
Besigye abadde ku kitebe kya Jeema e Mengo gyáweeredde nsalesale eyo.
Yennyamidde nágamba nti bannansi tebayinza kuba nga beyaguza luggyo,kyokka nga waliwo bebagulira emmotooka ezóbuwanana era nga bebasalawo ku nsonga zonna ezéggwanga.(sipiika wa parliament nómumyuka ka bebakagulirwa emmotoka kapyata kika kya Benz).
Mu ngeri yeemu Besigye agambye nti government erina okukendeeza ku nsaasaanya yaayo, ekendeeze ku muwendo gwaba minister abasoba mu 80, balina abakuumi abamu balina némmotoka ezibawerekera, abawi bámagezi aba president nti nabo bakendeere, ba RDC nókusala ku misaala gyábakungu ba government abasasulwa obuwanana, nga kwotadde nókukendeeza emisolo esobole okutaasa embeera yébyenfuna eyekanamye mu ggwanga.
Agambye nti banansi embeera gyebalimu mbi okusinga newebaabeerera mu muggalo gwa covid 19.
Besigye akikaatiriza nti obwavu obuluma bannansi bulwadde bwennyini obugenda okutta abantu nga babuliddwa ekyokulya
Besigye mungeri yemu agambye nti ye tagenda kutya kusibwa mu makomera ngálwanirira eddembe ly’abalala.