Kyaddaaki baasi z’ekitongole ki Posta Uganda ezimanyiddwa nga Post Bus ziddamu okusaabaza abantu olunaku lwa leero nga 17 December,2024 ng’omu ku kaweefube w’okugaziya enfuna y’ekitongole ekya Posta Uganda.
Executive Director w’ekitongole kino James Arinaitwe abyanjulidde mu kakiiko akenjawulo parliament keyassaawo okwetegereza enkozesa ya ssente mu kitongole ki Posta Uganda oluvannyuma lw’okukizuula nti tezikozesebwa bulungi kyokka nga government ekisaamu sente nnyingi.
Arinaitwe abuulidde akakiiko nti basazeewo bazzeewo entambula ya bbaasi zino basobole okwongera ku nnyingiza y’ekitongole kko n’okuzzaawo omugaso gwa baasi zino gwezaalina.
Alinaitwe era ategeezezza akakiiko nga bwebetaaga ministry evunanyizibwa ku by’ettaka ekakase nti buli kyapa ekifulumizibwa kiriko akabokisi ka posta nti kyakukendeeza ku kibba ttaka mu ggwanga.
Akulira akakiiko kano era omubaka Omukyala owa district ye Napak Faith Nakut agamba nti posta Uganda eyongedde okweteereza okusinziira ku kunoonyereza kwebaakakolawo mu kunonyereza kuno, bwogereragerenya n’ebizze byogerwa nti kibaddemu vvulugu mungi.
Vvulugu azze ayogerwako kwekuli kyekubiira mu mawanga ku ngaba y’emirimu, amabanja agabadde gabanjibwa ekitongole agabadde gasukkiridde nga kati bongedde okugakendeeza n’ebirala.
Bisakiddwa: Nabagereka Edith