Alipoota y’ekitongole ky’ebibalo n’emiwendo ekya Uganda Bureau of Statistics (UBOS) eraze nti banna Uganda abakozesa internet, ebitundu 13% bokka, bebajikozesa okukola business ezivaamu ensimbi n’amagoba.
Alipoota eraga nti banna Uganda ebitundu 9% bwe bukadde 4, 137,338 bebakozesa internet, wabula nti abantu emitwalo 537,854 bebazikozesa okukola amagoba.
Alipoota eraga nti mu Uganda enkozesa ya internet yeyongeddeko okuva ku bitundu 8.6 % okutuuka ku bitundu 9%.
Banna Uganda obukadde 2, 772,016 internet bajikozesa kunyumya mboozi nakwebuuzako, sso nga bana Uganda emitwalo 66 1,974 bebajikozesa okusoma n’okunonyereza ebyokusoma.
Alipoota eraga nti banna Uganda ebitundu 76% balina essimu, ebitundu 41% balina Radio, ebitundu 23% bebalina TV ewaka, ebitundu 8.3% bebalina essimu zookumeeza ate ebitundu 4% bebalina Computer mu maka gabwe.
Abantu abalina amasimu beeyongedde obungi okuva ku bitundu 38% okutuuka ku bitundu 43%.
Bisakiddwa: Ddungu Davis