Tusuubira Isma Lubega abadde amanyiddwa nga Isma Olaxes oba Jajja Ichuli aziikiddwa enkuyanja y’abantu ku kyalo Katwe Nkokonjeru mu district ye Buikwe.
Abadde president wa Uganda bloggers Association era abadde yekoledde erinnya ku mitimbagano ng’ayogera ku nsonga ez’enjawulo.
Abayimbi, bannakatemba, bannabyabufuzi, abakozi b’emikutu gy’empuliziganya n’abantu abalala bangi baziise Ichulli.
Jajja Ichulli yakubiddwa amasasi mu kiro bweyabadde adda ewuwe e Kyanja mu gombolola ye Kawempe mu Kampala.
Omulambo gwa Isma Olaxes Jajja Ichuri gwagiddwawo negutwalibwa mu ddwaliro e Mulago, oluvannyuma gugiddwayo negutwalibwa mu maka ga kitaawe e Zzana, okugukubako eriiso evvanyuma nga tegunatwalibwa e Nkokonjeru okuziikibwa.
Hajji Kasajja taata w’omugenzi Isma Olaxes Jajja Icuri, agambye nti okuva lweyawulidde amawulire g’okufa kw’omwana we yalemereddwa okuva ewaka, era ebigambo bimuweddeko olulabye ku mulambo gwa mutabaniwe kyokka nagamba nti obuyinza abulekedde katonda okusalawo, nasaba abakola okunonyereza bakole ogwabwe.
Tusuubira Isma Lubega Olaxes Jajja Ichulli yazaalibwa mu 1970, afiiridde ku myaka 53.#