Omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka eya She Cranes, Peace Proscovia, aweereddwa engule y’omuzannyi esinze okuteeba goolo ennyingi mu liigi ya babinywera eya Bungereza eya Vitality Super League, eya Gilbert Golden Shot Award.
Peace Proscovia era nga ye captain wa She Cranes omupiira ogw’ensimbi agucangira mu club ya Surrey Storms.
Okutuuka ku kkula lino ateebye goolo 853 okuva mu mizannyo 20.
Omugatte mu katimba akasuseemu emipiira 906, nateebako goolo 853 bye bitundu 94.15%.
Mungeri yeemu munayuganda omulala Mary Nuba owa club Loughborough Lightning, naye amalidde mu bifo 5 ebisooka mu basinze okuteeba goolo ennyingi.
Mu mipiira 13 Maru Nuba ateebye goolo 564, okuva mu mipiira 629 gyakasuze mu goolo, bye bitundu 89.67%.
Guno mulundi gwakubiri ogw’omudiri𝝶anwa nga bannauganda bawangula engule eno, nga Mary Nuba yagiwangula omwaka oguwedde 2021, yateeba goolo 849.
Peace Proscovia era alondeddwa ku ttiimu yabazannyi 7 abasinze okukola obulungi mu liigi ya Vitality Super League.
Abazannyi bombi Peace Proscovia ne Mary Nuba bayitiddwa ku ttiimu y’eggwanga eya She Cranes eyetegekera empaka za Commonwealth Games ezigenda okubeera e Birmingham Bungereza, omwezi ogujja ogw’omusanvu omwaka guno.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe