Government eyanjudde enteekateeka ez`okutumbula eby`obusubuuzi n’amakolero mu Uganda, ng`eyitira mu ku kwasizaako bannauganda abasiga kuno ensimbi.
Mu nteekateeka zino mulimu okuwa bannauganda ettaka n’okubakendeereza ku misolo, naddala abatandikawo amakokero.
Minister Omubeezi avunanyizibwa kubamusigansimbi Hon Evelyn Anita, bwabadde ayogerako nebanamuliire ku ministry yebyensimbi, agambye nti ettaka government egenda kulibagabira ku bwereere eri bannauganda abeetegefu okutandikawo amakolero.
Enkola eno eya bamusiga nsimbi okuweebwa ettaka mu Uganda ebadde esinga kwettanirwa abava mu mawanga amalala.
Sarah Cherangat Commissioner avunaanyizibwa ku by’emisolo mu ggwanga, agambye nti balinawo nenteekateeka esonyiwa abamu ku bannauganda emisolo singa babeera bataddeyo okusaba kwabwe.
Bisakiddwa: Musisi John