Bannamakolero basabiddwa okukendeeza ku nkola ezityoboola obutonde bw’ensi kisobozese Uganda okutuukiriza ekirooto kyayo ekyokukuuma obutonde n’okukendeeza ku bibamba.
Amakolero mu ggwanga ganokoddwayo nti gegasinze okuviirako okusindika ebikka ebikyafu mu bwengula, okuleekanya ebyuuma ebikozesebwa (Noise pollution), okufulumya ebyamaguzi mu bucupa n’obuveera obwobulabe ku butonde, ne ku bulamu bw’abantu.
Francis Ogwal, okuva mu kitongole kya National Environment Management Authority, (NEMA), asinzidde mu lukungaana lwa bannamakolero ne Bank ya Diamond Trust, kwebatongolezza enteekateeka eye myaka 5 etuumiddwa The Green Industry Agenda, n’agamba nti bannamakolero balina obuvunaanyizibwa bwa maanyi mu ntegeka y’okuzaawo obutonde bw’ensi obutaavuddwa.
Entegeka ya The green Industry Agenda egendereddemu okusaawo enkola ezikuuma obutonde bw’ensi, omukolo guyindidde ku Serena hotel mu Kampala.
Dr Safieldin Munir, ssenkulu wa UNICEF mu Uganda ku lw’ekibiina ky’amawanga amagatte agambye nti bannamakolero mu Uganda basaanidde okujjumbira okukozesa tekinolojiya ow’omulembe mu byebakola, nga tayonoona butonde bwansi.
Kazibwe Kyambadde, akulira emirimu mu bank ya DTB Uganda, ku lwa ssenkulu Godfrey Ssebaana, aweze nti bakuvujjirira enteekateeka eno, era asinzidde mu lukungaana luno naagamba nti ssinga amakolero gongera amaanyi ku nkola ezitaasa obutonde, ebyenfuna bya Uganda byakweyongera olw’abantu okwewala endwadde.
Keto Kayemba, ssentebe wa boodi ya Uganda manufacturers Association, agambye nti basuubira okutandikirawo okukyuusa ebyonoona obutonde n’ebitundu 10 %, song mu bbanga lya myaka 3 basuubira okukendeeza n’ebitundu 25%.
Bisakiddwa: Ddungu Davis