Kyadaaki president wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa eraomuddumizi wokuntikko owe bitongole by’okwerinda byonna akirizza eyaliko omudduumizi wa police ya Uganda, Gen Kale Kalekeezi Kaihura emirimu gy’amagye mu butongole.
Kitegerekese nti Gen Kale Kalekeezi Kaihura wakuwumula n’abasirikale abalala 10 era enteekateeka eno etandika mwezi guno ogwa July 2023.
Kinajukirwa nti gyebuvuddeko mutabani wa president Museveni, Gen Muhoozi Kainerugaba bweyali mu bikujjuko bye eby’amazaalibwa e Kisolo, yalabwako ne Gen. Kale Kaihura era nategeza nga bwagenda okusaba kitaawe President Museveni asoonyiwe Kale Kaihura.
Kigambibwa nti ne banamagye abalala abazze basaba okuwumula kyoka ne baganibwa okumala ebbanga okuli Gen David Sejjusa nabalala, bebamu kwabo 10 abagenda okuwumula omwezi guno.
Gen.David Ssejjusa amaze emyaka egisoba mu 15 nga takkirizibwanga kuwummula,okuva mu 1996 lweyasooka okusaba awummule emirimu gy’amagye.
Amyuka omwogezi wa Magye ga UPDF Col Deo Akiiki agambye nti enteekateeka zino zonna, ez’okuwummuza abasirikale abo zigenda mu maaso.
Kinajukirwa nti Gen Kale Kalekeezi Kaihura yatwalibwako mu kooti y’amagye n’avunaanibwa emisango egyenjawulo, omuli okukozesa obubi wofiisi, wabula oluvanyuma yavaayo ng’assiddwako obukwakkulizo, era ng’abadde takkirizibwa kufuluma Uganda olwe ebyokwerinda ebyamutegebwako ku biragiro bya president Museveni.#