Bannakibiina ki National Unity Platform abaaweebwa kaadi abali mu 100 okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, baalemereddwa okwewandiisa ku mutendera gw’ebifo by’ababaka ba parliament.
Wiiki ewedde, akakiiko k’ebyokulonda kaasunsula abaali bagala okwesimbawo ku bifo byobubaka bwa parliament mu nteekateeka eyamala ennaku bbiri nga 22 ne 23 October,2025.
Wadde ekibiina ki NUP kyagabira abantu abasoba mu 400 kaadi okwesimbawo ku bifo by’obubaka bwa parliament ,ensonda mu kibiina ki NUP zigamba nti abantu abali eyo mu 100 baalemeddwa okwewandiisa eri akakiiko kabeyokulonda
Abamu kwabo abaweebwa kaadi okugeza e Bushenyi mu Igara East, Kibaale newalala bawandukamu nga bagamba nti tebalina nsimbi zakutambuza kakuyege n’okwewandiisa.
Ensonda mu NUP zibuulidde CBS nti ekibiina nakyo kyabulwa ensimbi ez’okusasula okuwandiisa abantu baakyo eri akakiiko k’ebyokulonda million 3 buli omu ,olwebbula ly’ensimbi eryagwa mu kibiina oluvannyuma lw’okummibwa ensimbi za IPOD.
Ssaabawandiisi wa NUP David Lewis Rubongoya agambye nti ekibiina tekinafuna muwendo mutuufu ogw’abantu abaalemereddwa okwewandiisa, wabula bakimanyi nti abawerako baalemererwa okwewandiisa
David Lewis Rubongoya agambye nti waliwo ensonga nnyingi ezaalemesa abantu baabwe okuwandiisibwa, omuli n’okuwambibwako ebiwandiiko byabwe. #












