Bannakibiina ki Forum for Democratic Change ekiwayi kya Katonga road, basazeewo basattulule ekibiina kya FDC kyonna, kiwandukululwe mu bibiina by’obufuzi mu ggwanga, enjuyi zombiriri ezikikayanira zitandikewo ekibiina ekirala.
Forum for Democratic Change kyafuna obutakaanya oluvanyuma lwabamu ku ba memba okulumiriza abakulembeze babwe okwali President Amuliat Obi ne Ssabawandiisi Nandala Mafabi, okufuna omudidi gw’ensimbi okuva mu kibiina ekiri mu buyinza ki NRM, ekyaviirako abakulembeze okufuna obutakaanya, nebatondawo ekiwayi kye Katonga ekikulemberwa Ssalongo Erias Lukwago.
Ekiwayi kye Katonga era kirumiriza nti NRM yeyavujjirira akalulu ka Patrick Amuriat, bweyali avuganya ku bwa president mu kulonda kwa 2021.
Bano basinzidde mu tabamiruka wékibiina kyabwe atudde ku luguudo Katonga mu kibuga Kampala, nebasalawo beeyambise amateeka bawandukulule ekibiina kya FDC mu bibiina byóbufuzi mu ggwanga, enjuuyi ezirwanagana zombiriri zikifiirwe.
Omukulembeze wékibiina kya FDC e Katonga Ssalongo Erias Lukwago yeerayiridde nti ensonga yókuwanduukulula ekibiina kya FDC mu byóbufuzi bye ggwanga bagenda kukituukiriza ate mu bwangu ddala.
Lukwago agambye nti batandise ku lugendo lw’okusattulula ekibiina ki FDC, Olugenda okumala emyezi 6, mwebagenda okulangiririra ekiddako, omuli n’okutondawo ekibiina ekiggya, erinnya ly’ebanakiwa nebirala.
Lukwago agambye nti bakimanyi bulungi nti bagenda kusanga emiziziko mukuggalawo FDC naye omulimu bakuguggusa.
Omu kubatandisi békibiina kya FDC Col Kizza Besigye, akaanyizza nekisalidwawo abawagizi baabwe, abagala FDC esatululwe mu bulumi obwámaanyi, nagamba nti ku musaayi gwábantu oguyiise olwékibiina kino mungi naye tewakyaliwo kyakukola.
Besigye akinoganyiza nti ekisinze okuleeta emirerembe mu bibiina ebivuganya government beebantu okwagala ennyo ensimbi okusinga ebirala, era naalabula abakulembeze bébibiina byóbufuzi ku ludda oluvuganya government okukomya omulugube.
Basazeewo era okwongezaayo ekisanja ky’obukulembeze bwabwe okumala emyezi 6, nga bwebeetegekera okutondawo ekibiina ekijja nókusanyaawo ekibiina FDC kyonna.
Wabula Robert Centenary, amyuka sentebe wékibiina kya FDC mu ggwanga kuludda olwe Najjanankumbi, alabudde abe Katonga nti bakomye katemba gwebalimu, batandike ebintu ebirala bave mu kubuzabuza banna Uganda.#