Bannakibiina kya FDC 36 ab’ekiwayi kye Katonga bazziddwayo ku alimanda mu komera e Luzira okutuusa nga 26 August,2024, ku misango gy’okusekeetererera government.
Basimbiddwa mu kooti nga bayita ku mutimbagano mu nkola eya Zoom.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka nerutegeeza kooti, nti okunoonyereza ku musango tekunnaggwa, ekitabudde bannamateeka babwe, nebasaba omulamuzi ali mu mitambo gy’omusango Christine Nantege okulagira ssaabawaabi wa government okwanguyirizaako okunoonyereza.
Kigambibwa nti wakati wa 22 ne 23 July, 2024, banna FDC bano 36 baakwatibwa e Kisumu mu Kenya gyebaali bagenze okuluka omupango ogw’okusuula government ya Uganda.
Wabula abakulembeze ba FDC abe Katonga bagamba nti bano okukwatibwa baali bagenze mu musomo gw’okubangulwa mu by’obukulembeze ogwali gugenda okubaawo okuva nga 23 okutuuka nga 30 July, 2024 mu ttendekero erya Ukweli Pastoral and Leadership Centre e Kisumu mu Kenya.