Buddu CBS Pewosa etuuzizza Ttabamiruka waayo ow’omulundi ogw’omukaaga, nebasiima Ssaabasajja Kabaka eyasiimye naatuuma erinnya ekizimbe kyabwe ekikyali ekiggya, kiyitibwe MEERU CBS PEWOSA Buddu Sacco.
Ekizimbe kino eky’emyaliriro 4 kati kyekisiinga obuwanvu n’obunyirivu mu kibuga Masaka.
Kisangibwa ku Birch Avenue plot 11C mu Masaka City.
Ekiziimbe kino kyamaze emyezi 7 nga kizimbibwa, kyataandika okuzimbibwa mu February,2024 nekimalirizibwa mu September,2024.
Mu Ttabamiruka wa Buddu Cbs pewosa Sacco eyatudde mu kibuga Masaka ng’akubirizibwa ssentebe wabwe Owek.Vincent Bbaale Mugera baayisizza ekiteeso ekisiima omuteregga olw’okubawa erinnya ly’ekizimbe kyabwe.
Ekiteeso ekirala kyakusiima Omuteregga Ssaabasajja Kabaka Ronald II olw’okuweza emyaka 70 egy’obukulu.
Owek.Bbaale Mugera ategeezezza nti baasalawo nti ensimbi zonna eziva mu kugula emigabo gya ba memba, bazikozese okukola ebintu eby’ensibo, era mwemuvudde ekizimbe ekituumiddwa Meeru CBS Pewosa Buddu Sacco.
Ssenkulu wa Sacco eno Namugenyi Zaharah agambye nti wadde balina ebibasomooza, nti naye nebituukidswako bingi, era nga kati baweza amatabi 8, n’ abakozi 104.
Minister w’ekikula ky’abantu, bulungibwansi, amazzi n’obutonde bwensi Owek.Mariam Mayanja agambye abadde omugenyi omukulu ku Ttabamiruka ono, agambye nti Buddu CBS Pewosa omutindo gweriko gubawadde amaanyi, nti bwekataligirya, Buganda yakufuna Bank yaayo. #
Bisakiddwa: Tomusange Kayinja