Abazigu abatanaba kutegerekeka balumbye essundiro ly’amafuta aga Magnum Petroleum agasingibwa e Kitega mu district ye Buikwe nebatematema omukuumi n’omukozi saako n’abamu ku balirwana ababadde bazze okudduukirira.
Kigambibwa nti ababbi bano ababadde beyambisa ejjambiya n’emiggo baalumbye amafuta gano ku saawa nga mwenda ezekiro nebatematema omukuumi Abiriga Mohamed 55 era ono afudde addusibwa mu ddwaliro eddene e Kawolo.
Omulala atemeddwa ye Ecuru Solomon 27 abadde atunda amafuta era bamunyazeeko ensimbi ezitanaba kutegerekeka muwendo, olwo ababbi bano nebakala amaaso nebalumba ne ba mulirwana ababadde bagguddewo okutaasa nabo ne babamalirako ekiruyi.
Kuliko Umaru Masikini, Kaganda innocent 53, Katubgano David, Hakimu zziwa 33, mutebi Mohamed 28 ,nga bano be bamulirwana ababade bagezaako okudduukirira enduulu.
Omu ku bakozi abatunda amafuta Ewat George yasobodde okwemulula era yategeezezza nnannyini mafuta ebiguddewo.
Omwogezi wa police mu ssezibwa region Afande Hellen Butoto agambye nti police tenabaako gwezuula olw’okwenyigira mu bunyazi buno, naye ng’omuyiggo gukyagenda mu maaso.
Bino webigidde nga wakayita wiiki emu ng’abazigu balumbye essundiro ly’amafuta mu town ye Mpigi nebatematema abakuumi nebakuliita n’emmundu saako ensimbi enkalu, wabula emmundu oluvannyuma yazuulwa.
Bisakiddwa: Sseruyange Christopher