Abatuuze mu kibuga Kaliisizo mu district ye Kyotera bavudde mu mbeera nebatwaliira amateeka mu ngalo, bakkakkanye ku muvubuka ateeberezebwa okubeera mu kabondo k’ababbi ba pikipiki, bamusibye ku muti nebamukumako omuliro naabeengeya.
Attiddwa ye Kimbowa David myaka 29 omutuuze we Nabyaje mu gombolola ye Lwankoni.
Kimbowa ne banne abalala 3 abali mu kkomera, baalonkomebwa nti benyigira mu bubbi bwa pikipiki n’okutemula abagoba ba bodaboda.
Kigambibwa nti Kimbowa bweyalaba banne 3 bakwatiddwa yemulula naabulawo, okutuusa lwalabiddwako mu kibuga Kaliisizo.
Abatuuze batandise okumugobereza amaaso naye naabekengera neyemulula, kwekumulinnya akagere nebamukwatira ku kyalo Nninzi.
Bamusibye ku muti nebamukumako omuliro naabeengeya.
Waliwo abamu ku batuuze abakubidde police ejje emutaase, egenze okutuuka nga mufu.
Hassan Musooba DPC we Kyotera avumiridde abatwalidde amateeka mu ngalo, n’agamba nti police egenda kubayigga bavunaanibwe.
Agambye nti ekikolwa kino kigenda kubuzaabuza obujulizi obuwerako, nti kubanga baliko byebabadde balina okubuuza Kimbowa ne banne abalala abakyayiggibwa.
DPC Musooba agambye nti bbo abavubuka 3 abaakwatibwa bakyakuumibwa ku police.
Baasangibwa n’ennamba za pikipiki 21.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi