Ttiimu ya Argentina ewangudde ekikopo kya Copa America 2024, ekyedizza omulundi ogwokubiri ogwomuddiringanwa.
Argentina ewangudde Columbia ku ggoolo 1:0 mu ddakiika ez’ennyongereza mu kisaawe kya Hard Rock Stadium mu kibuga Miami.
Omupiira ogwakamalirizo gwatandise kikeerezi olw’abawagizi abaalabiddwako nga bakuba ebituli mu bisenge by’ekisaawe, gwantandise nga wayiseeko eddakiika 82 okuva ku ddakiika kwegwabadde gulina okutandikira.
Ggoolo ya Argentina yateebeddwa Lautaro Martinez.
Kati Argentina ewezezza ebikopo 16 era y’esinga ebikopo ebingi mu South America.#
Bikungaanyiziddwa: Kamoga Abduswabur