• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda 2024: Ssenkole mpoomye – Nalunga yagoya amayuuni

Eno ye Ntanda 2024: Ssenkole mpoomye – Nalunga yagoya amayuuni

November 5, 2024
Ebintu byaffe eby’obuwangwa tebirina kuyitibwa bya sitaani – bishop silvester Kisitu mu kukuza amazaalibwa ga Kabaka age 71 ku eklesia e Namungoona

Okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’e 71 – gakulembeddwamu eklesia ya Orthodox e Namungoona

April 13, 2026
Yogaayoga nnyo Ayi Ssaabasajja Kabaka omuti ogubala ensimbi n’ebikomo – okutuuka ku mazaalibwa go ag’emyaka 71

Yogaayoga nnyo Ayi Ssaabasajja Kabaka omuti ogubala ensimbi n’ebikomo – okutuuka ku mazaalibwa go ag’emyaka 71

April 14, 2026

Omubaka wa Germany mu Uganda H.E Mathias Schauer yeyanzizza Ssabasajja Kabaka olw’okutumbula eby’obulamu mu Uganda – Kabaka@71

April 12, 2026

Kabaka@71 – Nnaabagereka, abalangira n’abambejja betabye ku misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka

April 12, 2026

Ssaabasajja Kabaka asimbudde emisinde gy’amazaalibwa ge age 71 – asiimye naye naatambula n’abamu ku bantu baasanze nga tebasobola kudduka

April 12, 2026
Ssaabawaabi w’emisango gya government agguddewo emisango emiggya eri abakozi ba ministry y’ebyensimbi 9 – abagambibwa okubeera abalyake n’okwenyigira mu kukusa ensimbi obuwumbi 60 okuyita ku mitimbagano

Abasomesa 7 basindikiddwa mu nkomyo omwaka mulamba – basingisiddwa gwakwenyigira mu kubba ebibuuzo bya UNEB

April 10, 2026
Abasomesa 7 basindikiddwa mu nkomyo omwaka mulamba – basingisiddwa gwakwenyigira mu kubba ebibuuzo bya UNEB

Abavubuka baleese ebirabo by’amazaalibwa ga Kabaka age 71 – bakubiriziddwa okukuuma empisa buli webabeera

April 12, 2026
Ssaabasajja Kabaka asiimye okusimbula emisinde gy’Amazaalibwa ge ku sunday nga 12 April,2026

Maapu y’ebitundu awanayita abaddusi b’emisinde gya Kabaka Birthday run 2026 yiino

April 10, 2026
Ssaabasajja Kabaka asiimye okusimbula emisinde gy’Amazaalibwa ge ku sunday nga 12 April,2026

Ssaabasajja Kabaka asiimye okusimbula emisinde gy’Amazaalibwa ge ku sunday nga 12 April,2026

April 10, 2026

Ba ssentebe ba district 146 abaawangula akalulu ka 2026 bassiddwa mu kyapa ky’eggwanga ekikulu – The Uganda Gazette

April 10, 2026
Omuliro gusanyizaawo ekisulo ky’abayizi ku Nnakanyonyi Girls SS e Jinja

Omuliro gusanyizaawo ekisulo ky’abayizi ku Nnakanyonyi Girls SS e Jinja

April 10, 2026
Olutalo lw’ebigambo mu bagala ekifo kya sipiika wa parliament – President Museveni alambise ku nteekateeka ya CEC ey’okusemba beyagala balondebwe

Olutalo lw’ebigambo mu bagala ekifo kya sipiika wa parliament – President Museveni alambise ku nteekateeka ya CEC ey’okusemba beyagala balondebwe

April 9, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Archive

Eno ye Ntanda 2024: Ssenkole mpoomye – Nalunga yagoya amayuuni

by Namubiru Juliet
November 5, 2024
in Archive
0 0
0
Eno ye Ntanda 2024: Ssenkole mpoomye – Nalunga yagoya amayuuni
0
SHARES
93
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Mu Program Entanda ya Buganda ku 88.8 Radio y’Obujajja, ku mutendera ogw’okubiri nga 4 November, 2024, abamegganyi; Kizito John Lukoma yafunye obugoba 38, ne Musajjaalumbwa Joseph eyafunye obugoba 17 baasuumusiddwa okweyongerayo ku mutendera oguddako ate Ssennyange Emmanuel eyafunye obugoba 14 yawanduse.

Biibino ebibuuzo by’Entanda;
1. Obulombolombo bubiri ku kusimbuliza omufu. Omukolo gukolwa kiro, Omujjwa y’asooka okutema enkumbi esooka.

2. Ensinza y’Abaganda ey’ennono ekuuma etya obutonde bw’ensi? …..Ebifo ebisinzizibwako ng’ekibira obutatemwamu miti.

3. Enjawulo wakati w’okumwenya n’okumwenyereketa…… Okumwenya y’entandikwa y’enseko, Ate okumwenyereketa kwekusukka ku kumwenya.

4. Olugero: Nnannyini kitiko……. Talya bwa mpompogoma.

5. Ani yawandiika ekitabo Ekinywa ky’amaggwa?… Omw Ulisiisi Kibuuka Cuka.

6. Ensi zibeera ne Code number, Code ya Uganda eri ki? ………+256

7. Olusozi Mmengo bwerwali terunnaba kufuna linnya eryo lwayitibwanga lutya? ……Nkaawo.

8. Amakulu g’ebuziba ag’ekisoko. Ekintu okukudda ng’enda y’embuzi bwedda omuli……. Ekintu kyonna kyokolera ddala n’okimalirayo ddala.

9. Embeera bbiri eziyinza okusazaawo okusimbuliza omufu……… Ssinga omuntu oyo aba teyaziikwa weyalina okuziikibwa oba ssinga wabaawo abamukaayanira.

10. Ebika by’Abaganda bikuuma bitya obutonde bw’ensi? ……Emiziro gyaffe naddala ebimera bikuumwa butiribiri n’ebisolo by’okuttale kituleetera okukuuma ebibira.

11. Okuyinama n’okwanaamirira ……..“okuyinama kuduula okwanaamirira kuleka kintu nga tokibisseeko.

12. Olugero: Nnamunye tamala kubala nnyumba………Buli ezimbwa ng’agirinnyako.

13. Amannya g’omuwandiisi g’ekitabo Ebitontome by’Oluganda n’ensomesa yaabyo………MB Mulumba.

14. Pin code ya Airtel erina ebifo bimeka? …..4

15. Kika ki ekya Buganda ekirina omulimu omutongole nga kigukolera awo awasangibwa olubiri lw’e Mmengo?……. Nvubu

16. Amakulu g’ekisoko “Okuba nga zigobye ntulege”…… Okuteganira obusa.

17. Emizizo ebiri mu kusimbuliza omufu….. Tewaabaawoo kukaaba, omuntu eyamuziikako taziika gwakubiri.

18. Engeri enkulaakulana y’ensi bwefuukidde obutonde bwensi omuziziko. ……..Mu kukola enguudo ebifo ebyebyafaayo bingi bisaanyizibwawo ng’emiti gy’ebika.

19. Okusamaala n’okusamaalirira……… Okusamaala kwekutunuulira ekintu n’okimalirako obudde n’amagezi ate okusamaalirira kwekulaba ekintu ekyewuunyisa ennyo.

20. Olugero: Nnumba kigumba kyange……. Bwebukoddo.

21. Ani yawandiika ekitabo Obusenze ku mutala BULAMU? …….Ssemakula Ssemoogere Godfrey.

22. Ensangi zino SIM card kigandawaziddwa, lambulula SIM ….. Subscriber Identification Module.

23. Ennono y’erinnya Mmengo…….. Kwalingako emmengo z’abenvubu.

24. Amakulu g’ekisoko Okusimba eggumba…… Kitegeeza okutambuza ebigere olugendo oluwanvu.

25. Erinnya eddala eriweebwa langi eya kiragala……… Kkulumbisi.

26. Olugero: Kirevu ntende… Ekyalekerera wante n’ekikwata wambuzi.

27. Kabaka Cchwa Nabakka yazaalira Obuganda omulangira omu yekka, yaani? ……Kalemeera.

28. Ekinyomo ekizimba mu lumuli kiweebwa linnya ki? …….Kirembwe.

29. Kkoyi kkoyi nnina mukazi wange alina oluguudo oluva wansi ppaka waggulu…….., Ekibbo n’omugo gwakyo.

30. Abaganda bawanuuza nti omusota bwegukulu gumerako ekitonde kino, kiriwa? Kimerako ekisagazi.

31. Ekikolwa ky’abayizzi abamu okugabirako bannaabwe abafunye ennyama entonotono kiweebwa linnya ki?……… Okuwanira.

32. Ensimbi eyennono etaliimu kituli eweebwa mannya ki? Ensiru oba enfugwa.

33. Mu kwalula abaana abantu bakozesa ebintu ebyenjawulo, ssinga ekyoto kyogenda kufumbako emmere okukimisa essubi erivudde ku kisu ky’endegeya, abaana abo baba banaaba batya?…… Baba bajja kulejja.

34. Omuntu omuwanvu nga mutono nnyo bamugeraageranya ku ki? ……Lusolobyo.

35. Katikkiro wa Buganda eyasaba Bungereza ewe Buganda amazzi posta n’amasannyalaze….. Michael Kawalya Kaggwa.

36. Ekikolwa ekyokujja ebigogo ku bitooke bikozesebwe okulembeka amazzi…… Kugogombola.

37. Olugero: Sserwali lundi ……Omusibe tayita jjimbo.

38. Omuntu alima ennyo bamulabira ku nkuuli, bakiraba batya? …….Enkuuli ziba zizzeeko amabavu.

39. Olugero: Ssenkole mpoomye……… Nalunga yagoya amayuuni.

40. Ebitonde okuva amaliba agaleega engalabi…… Enswaswa n’ettimba.

41. Ekisoko okukwata ekire kitegeeza ki?….. Omuntu amaze ebbanga nga tanaaba.

42. Waliwo ekika ky’emmere ekifaana ey’omuttaka yadde tekulira mu ttaka …….. Kkobe

43. Kkoyi kkoyi Oluguudo olutuuka ku kibuga luvaawa?……. Mu kyalo.

44. Ssinga nnyini kitimba bamusoka okufumita ensolo eba yakiyingidemu, ekikolwa ekyo kiyitibwa kitya?……. Kuweekula.

45. Emmese ezisangibwa mu lumonde ziweebwa linnya ki? ……..Amafukuuzi.

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’e 71 – gakulembeddwamu eklesia ya Orthodox e Namungoona
  • Yogaayoga nnyo Ayi Ssaabasajja Kabaka omuti ogubala ensimbi n’ebikomo – okutuuka ku mazaalibwa go ag’emyaka 71
  • Omubaka wa Germany mu Uganda H.E Mathias Schauer yeyanzizza Ssabasajja Kabaka olw’okutumbula eby’obulamu mu Uganda – Kabaka@71
  • Kabaka@71 – Nnaabagereka, abalangira n’abambejja betabye ku misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka
  • Ssaabasajja Kabaka asimbudde emisinde gy’amazaalibwa ge age 71 – asiimye naye naatambula n’abamu ku bantu baasanze nga tebasobola kudduka

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist