America nayo yegasse ku Bungereza okuteeka envumbo ku bakungu ba government ya Uganda n’abagalwa baabwe, nga balangibwa okubeera n’akakwate ku buli bw’enguzi.
Abakungu aAmerica bekalizeeko natti kuliko Sipiika wa Parliamrnt Annet Anita Among, omwami we Moses Magogo, eyali omumyuka wómuduumizi wéggye lya UPDF Gen. Peter Elwelu, Minister omubeezi owébyensimbi Amos Lugoloobi ne Mukyala we Evelyn Nakimera, wamu néyali Minister wé Karamoja Mary Gorret Kitutu nómwami we George Micheal Kitutu, wamu n’eyali minister omubeezi owe Kalamoja Agnes Nandutu.
Ensonga Amerika kwésinzidde okukaliga Nnatti ku bakungu bano, kuliko okulya enguzi ne bakatagga, wamu nógwokulinnyirira eddembe lyóbuntu.
Okusinziira ku mwogezi wa Ministry ya Amerika eyénsonga ez’ebweru Matthew Miller, Sipiika Anita Among alangibwa kudibaga Parliament ya Uganda nti nágifuula ekifo omukutulirwa diiru zókulya enguzi.
Matthew Miller era ategeezezza nti Mary Gorret Kitutu nómwami we, Minister Lugoloobi ne Mukyala we nabo Amerika ebalanga kufiiriza ggwanga, nti olwókwezibika ebintu ebyalina okuyamba abanaku abawejjere abe Kalamoja.
Gen. Peter Elwelu; Amerika emulanga kutta bantu mu bugenderevu, mu kasambattuko akaali e Kasese mu 2016,nti bwe yaduumira abajaasi abaalumba olubiri lwómusingawa Rwenzururu.
Abakaligiddwako Nnatti; tebakkirizibwa kuddayo kulinnya kigere ku ttaka lya Amerika, era nébyobugagga byabwe mu America government ebiboye.
Amerika era etegeezezza nti etunula nkaliriza ku buli kigenda mu maaso mu Uganda, era waliwo nábakungu abalala békyetegereza, abagenda okuteekebwako envumbo ezéngeri eyo olwénneeyisa yabwe.
Bungereza yeyasooka okussa envumbo ku sipiika wa parliament Anitah Annet Among, eyali minister w’e Kalamoja Mary Gorret Kitutu n’eyali omumyuka we Agnes Nandutu nga baalangibwa enguzi n’obulyake.
Minister wa Uganda avunaanyizibwa ku mawanga amalala Okello Oryemu agambye nti envumbo eno siyakukosa government ya Uganda, wabula yakukosa bantu kinnoomu a abagiteereddwako era nti balina okwerwanako.
Wabula sipiika Anitah Among agamba nti envumbo zino zimuteekebwako lwakuba nti parliament gyakulembera yayisa etteeka eriwera omukwano ogw’ebikukujju.#