Omwana ow’emyezi 6 Mukisa Martin attiddwa amazike negamusuula mu kibira kye Kyampisi Forest Reserve mu gombolola ye Kibalinga mu district ye Mubebde.
Omwogezi wa police mu kitundu ekyo Racheal Kawala agambye nti amazike galabirizza nnyina w’omwana ng’amuzazise mu nnimiro mw’abadde alima okumpi n’ekibira, gamubbyewo negamutwala mu kibira gyebasanze ng’attiddwa.#