Entambula okuva e Pakwach ne Ggulu okudda e Kampala, saako abava mu Arua okugenda e Ggulu.
Amataba gasazeemu oluguudo oluva e Olwiyo okudda e Pakwach ku nkulungo ye Tangi okumpi n’olutindo lwe Pakwach, oluvannyuma lw’enkuba esiibye efudemba mu kitundu ekyo leero nga 27 November,2024.
Ekitongole ky’ebyenguudo ekya Uganda National Roads Authority (UNRA) kirabudde abantu abava e Kampala abagenda mu West Nile nti bayitire e Paraa bagukkire mu Kisanja Park.
Abasaabaze abava e Gulu okudda mu West Nile basobola okuyita Atiak nebagwa mu Adjumani nebayita ku kidyeri.
Embeera yeemu yetuuse ku bantu abava e Kampala okugenda e Gulu, Kitgum ne Lira, nabo balina kudda Masindi nebalinnya ekidyeri ekinaabatuusa ku mwalo ewali oluguudo olugatta ku luva e Kampala okudda e Ggulu.
Ekyeraliikiriza abatambuze kwekuba ng’ebidyeri bikola misana wokka.
Bino webijidde nga n’olutindo kwe Kaluma nalwo lukyakolebwa, ekikaluubiriza abava e Kampala okudda e Gulu n’ebitundu by’obukiika kkono ebirala.#