Ekitongole ekivunaanyizibwa kukulambika ebisomesebwa abayizi ki National Curriculum Development Center (NCDA) kinaatera okumaliriza enteekateeka y’okukendeeza amasomo agasomesebwa abayizi ku mutendera gwa A-level.
Amyuka akulira eby’okunoonyereza mu kitongole kino Dr.Richard Irumba agambye nti amasomo agabadde 4 agasomesebwa ku A-level, gagenda kukendeera gabeere 2.
Amasomo agaliwo mu kiseera kino gabadde 3 agessalira n’eddala limu ery’ennyongereza.
Irumba agamba nti singa entegeka empya egoberera amasomo 2 eneeba eyisiddwa, esuubirwa okutandika okussibwa mu nkola ng’etandika n’abayizi abagoberera ensomesa empya (new curriculum) egobererwa ku mutendera gwa O – level.
Ssaabawandiisi wa Uganda National Teachers Union UNATU, Mr Filbert Baguma agambye nti entegeka eno bagirindiridde mu ssanyu nti nga basuubira nti yakuvaamu ebibala, era n’asaba nti n’amasomo agasomesebwa mu primary nago gakendeezebweko.
Enteekateeka zino zonna zisuubirwa okukubwamu tooci mu nsisinkano y’abakugu ey’enjawulo esuubirwa okumala ennaku 2, nga 26 -27, 2023 ku University e Kyambogo.
Bisakiddwa: Namale Shahister