Amalwaliro ga government gatubidde n’ebyuma ebyomulembe ebyenkizo ennyo mu kutuusa obujajambi obw’imulembe eri bannauganda, wabula nga tebikozesebwa olw’okubulwa abasawo abakugu okuddukanya ebyuma bino..
Okunoonyereza kwakoleddwa Ssaabalondoozi w’ebitabo bya government Edward Akol, mu alipoota ye eyasookedde ddala okuva lweyakwaasibwa offiisi nga addira John muwanga eyamumula omwaka oguyise 2024.
Mu alipoota eno ey’omwaka gwebyensimbi 2023/2024, eraze nti eddwaliro ekkulu erya Mulago National Referral hospital lirina ebitanda 27 ebyomulembe ebya Intensive Care Unit nga byebibeera mu busenge omujanjabirwa abalwadde abayi ennyo, wabula ku bitanda 27 ebyo, ebitanda 15 byokka byebikozesebwa ebirala 12 tebikozesebwa olw’okubulwa abasawo abakugu okubiddukanya.
Mu malwaliro amalala nga Butabika erijanjaba abakosefu mu bwongo, Kiruddu, Kawempe ,China Naguru, n’eddwaliro ly’abakyaala erya Mulago Women Specialized Hospital Galina ebyuma ebiyitirivu eby’omulembe nga tebikozesebwa olw’obutabeera nabakugu babikozesa.
Amalwaliro amalala nga Entebbe, Kisenyi health center 4, Muk Hospital Kasangati Heath center 4, ebyuma okuli Patient monitors, Oxygen Concentrators n’ebitanda bya ICU nabyo tebikozesebwa.
Ssaabalondoozi w’ebitabo bya government mu mbeera yeemu, yakizudde nti ng’oggyeko okubulwa abakugu abaddukanya ebyuma ebyo, amalwaliro agamu gaafuna ebyuma ebyo wabula negalemererwa okufuna ebifo wegabiteeka.
Amalwaliro amalala gatubidde n’ebyuma ebyafa.
Okuddaabiriza ebyuma mu mwaka gw’ebyensimbi, ministry yebyobulamu ngeyita mu kitongole kyayo ekya Health Infrastructure Department yetaaga obuwumbi 20 wabula yafunako akawumbi 1 n’obukadde 800 ezitasobola kuddabiriza byuuma ebyo
Okusinziira ku ssaabalondoozi webitabbo bya government ,department ya ministry yebyobulamu Eno, terina busobozi bwakuddaabiriza byuma ebyo olwobutaweebwa sente zetaagisa, nti ne ministry y’ebyobulamu enfunda zonna zegezezaako okusaba ensimbi ezo, ebadde ekootakoota mu galumonde.#