Offiisi ya ssabaminisita eriko obuyambi obw’emmere n’ebintu ebirala ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo bweyasindise mu district ye Kisoro, buyambe abantu abali ku byalo ebyakoseddwa olw’amataba agaatutte amayumba gabwe, wabula abasinga tebanatuusibwako buyambi olw’amakubo agaasaliddwako.
Abantu abaakoseddwa bakungaanidde mu masomero agaliko mu bifo ebikalu.
Ekitongole ky’enguudo mu ggwanga ekya Uganda National Roads Authority kitegezezza nti oluguudo lwe Hamurwa olusinga okukozesebwa okuyita e Kabale okutuuka e Kisoro terukyasoboka kuyitamu.
Kati emmotoka ziragiddwa okukozesa olwa Kabale – Katuna-Rubaya -Muko okutuuka e Kisoro.
Wabula mubaka wa President owa district ye Kisoro Hajji Shafik Ssekindi ategezezza nti enguudo zonna eziva e Kabale okudda e Kisoro zayononeddwa enkuba, era nti yonna gyebagezaako kikyali kizibu okutuukayo.
Hajji Shafik Ssekindi ategezezza nti enkuba ettonnya obutasalako ekyalemesezza n’entekateeka endala ez’okukakasa abantu abaakoseddwa era abetaaga okutuusibwako obuyambi.#